Aluminiyamu
Gakuweebwa Charles Muwanga !! Akaziba ka Aluminiyamu era oyinza okukayita Atomu ya Aluminiyamu (Alminium atom) mu Luganda !
Aluminiyaamu:
• Akabonero: Al
• Namba ya akaziba: 13
• Kiva mu kya Lulattini alumen, oba"ekikaawa ennyo ".
Aluminiyamu bwe bumu ku buziba(atomu) obuzito ennyo , akatandikira okutondekebwa(okukolebwa) mu mulangaatira gw’enjuba omumyufu nga enjuba etandise okuzikira.
Akaziba (Atomu) ka aluminiyamu kaba n’obukontanyo 13, nampawengwa 14, n’obusannyalazo 13, n’olwekyo aluminiyamu kika kya “kyuma”. Mu kire ekyo ku ngulu mulimu obusannyalazo 3 ate ng’ekire kino kiyinza okwetikka obusannyalazo obutuuka ku kumi na munaana, ekitegeeza nti obusannyalazo buno obusatu buba buyayaanira okwegatta n’obusannyalazo okukola atomu endala eziriranyeewo.
Mu magombe g’ensi mulimu aluminiyamu mungi ddala. Mu butuufu aluminiyaamu y'endagakintu(element) esinga okusangibwa mu magombe g’Ensi, ng’ojjeko okisigyeni ne sirikoni. 8% ey’amagombe g’Ensi aba aluminiyamu kyokka aluminiyamu ono yenna yegattise n'obuziba obw’ebika ebirala kubanga aluminiyamu ng’ali yekka taba muggumivu (is unstable). Eky’okurabirako, endagakintu(elements) zino essatu ezisinga okukyaka zegatta okukola “ebbumba erya kooliini (kaolini clay), lino ng’ababumbi Abachina lye beyambisanga okukola “polisereeni“(Porcelain).
Mu nsi eyadda, abantu tebakozesanga aluminiyamu ku bubwe yekka kubanga tewaaliwo ngeri ya kumwawula n’ajjibwa mu atomu(obuziba) endala mw’asangibwa. Ku mulembe guno, tuyinza okwawula aluminiyamu nga tukozesea amasanyalaze ag’amaanyi amayitirivu. Tukozesa aluminiyamu mungi kubanga muwewufu ate nga mwangu okukolako ate nga tatalagga.
Ennyonyi okusinga zizimbibwa mu aluminiyamu era n’obukebe bwa sooda bukolebwa mu aluminiyamu. Eno y’ensonga lwaki kyetaagisa nnyo okuzza obugya (recycle) obukebe bwa soda okwewala okukozesa amasanyalaze ge wandikosezza okujja aluminiyaamu omujja mu atomu endala.